ABANTU BONNA (#6255)

Ayi Ggwe Mukama oweekisa!  Ggwe otonze abantu bonna okuva mu bbumba lye limu.  Ggwe olagidde nti bonna balibeera ba mu nju emu.  Mu Kubeerawo Kwo Okutukuvu bonna baddu bo, era abantu bonna  babudamizibwa wansi wa Weema Yo; bonna bakuŋŋaanye wamu ku Mmeeza Yo ey'Emikisa, bonna bamulisibwa ekitangaala ky’Obugabirizi Bwo. 
Ayi Katonda!  Ggwe oli wa kisa eri bonna, bonna Ggwe obalabiridde, bonna obawa we basula, bonna obawa  obulamu.  Ggwe obawadde buli omu era bonna ebitone n’amagezi, era bonna babbidde mu Ssemayanja w’Okusaasira Kwo.
Ayi Ggwe Mukama oweekisa!  Ogatte wamu bonna.  Okkirize amadiini okukkiriziganya era amawanga gonna ogafuule eggwanga limu, bwegatyo gasobole okweraba nga aboolulyo olumu era n’ensi yonna nga amaka agali awamu.  Okkirize bonna babeere wamu mu kukkaanya okutuukiridde. 
	Ayi Katonda!  Owanike waggulu ebendera y’obumu bw'abantu bonna. 
	Ayi Katonda!  Osseewo Emirembe Egisingira ddala Obulungi.  
	Onyweze Ggwe awamu emitima, Ayi Katonda!
Ayi Ggwe Kitaffe oweekisa, Katonda!  Osanyuse emitima gyaffe nga Ogiwa obuloosa bw’okwagala Kwo.  Otukuze amaaso gaffe n’Ekitangaala ky’Okuluŋŋamizibwa Kwo.  Osanyuse amatu gaffe n’oluyimba oluseeneekerevu olw’Ekigambo Kyo, era Otubudamye ffenna mu Bbugwe w'Obugabirizi Bwo. 
	Ggwe Owoobuyinza era Owaamaanyi, Ggwe Asonyiwa era abikkirira ensobi z'abantu bonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ABANTU BONNA (#6256)

Ayi Katonda! Tuli banafu; otuwe amaanyi.  Tuli banaku; otuwe ku bugagga Bwo obutaggwaawo.  Tuli balwadde; okkirize tufune okuwonyezebwa Kwo okutukuvu.  Tuli banafu, otuwe amaanyi Go amatukuvu.  Ayi Mukama!  Otufuule aboomugaso mu nsi eno; otuyimbule okuva mu mbeera y'okwerowoozaako n'okwegomba.  Ayi Mukama!  Tunyweze mu kwagala Kwo era otusobozese okwagala abantu bonna.  Otukakase mu buweereza eri abantu b'ensi, bwetutyo tusobole okufuuka abaweereza b'abaddu Bo,  n’okwagala ebitonde Byo byonna era n’okulumirirwa abantu Bo bonna.  Ayi Mukama! Ggwe Ayinza-byonna!  Ggwe Musaasizi-wa-bonna!  Ggwe Asonyiwa bonna!  Ggwe Owaamaanyi gonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

